LYRICS: 'Kasuwa' by Dr.Ronnie Uganda

Heeech!.......
Kasuwa.......
Yeeeec-Eeeeeechhh!
Dr.Ronnie Ugandaaaaaaaaa---Aaaach!

verse:1
Nga ajonjjo muliso,
Bwotyo bwoli,
Onsuza mukasonda,
Nga akanyama mu manyo,
Bwentyo bwendi,
kululwo nagonda,
Nkwagaalsa nga omulasita ku sadda!,
Onjuguumya nga omuyagga --ech1,
Yegwe eyasomosa omuyagga mu love!,
Wanjozamu obuchafu muli gweee!,
Wanyumunguzza-----------
Wankumuntamu empulunguse!,
Gwe oli fresh!,
Wamponya abalina omukwano guli oguduzze!!!
Wamponya enyama enkappa!,
Nondetera ensava nsibidde kugwe!.

chrous: x2

Kasuwa kange!------kasuwa!!!
Kasuwa kange kwensibidde,
Kasuwa kange!------kasuwa!!!
Kasuwa kwembalidde ebyange ----haah!

verse:2

Kino kilabwa nayoonka,
Ntino nina,----haah!
Kale nebwaba muzibbe,
Era akiwunyiliza------Haah!
Yegwe ankubisa salute!,
Nebwemba mubutiti siyoya kabuuti,
Wanfukira bulangiti nzena wanebika,
Oli bala kunze--
Nkwagaala nga bwolaba omuvubi ku dobbo!,
Wandoba----lobaaa!,
Oli kyabeyi nga masanga ganjovu!
Wabula kale onina,
Onsamazza-- buli bwemba nawe ngayaala!
Bali mbalaba nga bimyanso,
Mbalaba nga bipapajjo---yegweeeeee!!!

chrous; x2

Kasuwa kasuwa!!!----kasuwa!
Kugwe kwesibidde1,
Kasuwa kange!!----kasuwa!
Kugwe kwembalidde ebyange--haah!

interude;
(portal vybz)------

verse:3

Mazima olinga munyenye eyaka,
Mubudde bwe nsonosi,
Olinga buno obudde bwebayita obwakasimbazzi,
Kale buli omu abutya,
Nange bwentyo,bwenkutya,
Njijukira bwe wampita nasooka kutya,
Nga ndaba oyakayakana ,
Nga olinga ebimuli ebya rozza!
Ebiwuunya akaloosa!,
Okumanya nga oli wakabi,
Wanfumba nenjijja ndi muntamu,
Labayo baby onsula edalu!,
Lwakuba bwekulaba ate mba muggumu,
Wamponya enyama enkappa!,
Nondetera ensava nsibidde kugwee!

chorus:x2

Kasuwa kange!-----kasuwa!
Kugwe kwensibidde,
Kasuwa kange!----kasuwa!
Kugwe kwembalidde ebyange----haaah!

(End)

Share Your Thoughts On These Lyrics